Omulalu asse babiri e Mityana
Ku kyalo Kasambya mu gombolola eye Kalangaalo e Mityana, entiisa ebuutikidde abatuuze omuvubuka bweyeesuddemu akambayayaaya n’akakana ku bantu babiri n’abatematema, omu naleka ng’amusse.Abamu ku batuuze ababade bamanyi omuvubuka ono bagamba nti abaddeko ekikyamnu ku bwongoPoliisi etubuulidde nti ensonga eno eginonyerezaako.