Omupiira gw’abakyala: Kamya awera kukomyawo Asubo Gaffort mu liigi y’okuntikko
Oluvannyuma lw’okuwangula engule y’omutendesi eyasinze omwezi oguwedde mu liigi y’abakyala abazannya omupiira gw’ebigere, Finance Trust Women Elite League, omutendesi wa ttiimu ya Asubo Gafford Ladies Swaleh Kamya agamba nti amaliridde okulaba nga akomyawo ttiimu eno mu kibinja ky’okuntikko, Women Super League.