Omusango omusumba Kayanja mwavunaanira abantu 9 gwongezeddwayo
Okuwulira Omusango, Omusamba Robert Kayanja owa Miracle Centre e Lubaga mwavunaanira abavubuka mwenda okusaalimbira ku kkanisa ye n’ekigendererwa ky’okumunyiiza nga bagamba nti baali bagenze kubanja ssente zeyabasuubiza oluvannyuma lw’okubaganza mu bikolwa by’omukwano ogw’ebikukujju, kugudde butaka omulundi ogwokusatu. Kino kiddiridde abawawaabirwa okutegeeza nga bwebabadde batasobola kwewozaako olwa munnamateeka waabwe okulemererwa okulabikako ku kkooti olwobulwadde. Munnamateeka w’abawawaabirwa Humphrey Tumwesigye ensonga ze ez’obulwadde azitadde mu bbaluwa gyawandiikidde kkooti mwategeerezza nti tasobodde kulabikako olw’obulwadde nga ne ku lutuula olubadde luddako nga nnya ogw’okuna era ssiwakulabikako Munnamateeka Davis Tusingwire abawawaabirwa gwe baleese okubawolereza olwaleero era ategeezezza nga bwe beetaaga obudde okwekeneenya n’okuvuunula obubaka obwakwatibwa ku masimu bwe balina okweyambisa mu musango guno Kyokka oludda oluwaabi olukulemberwa Jonathan Muwaganya lwemulugunyizza eri kkooti olw’abawawaabirwa okutandika okuzannya jjangu onkwekule n’ekigendererwa kyokukeereya omusango guno. Muwaganya ategeezezza kkooti nti abamu ku bawawaabira okuli Alex Wakamala ne Jamil Mwanda bwe baddukira mu kkooti enkulu nga baagala esazeemu envumbo eyassibwawo kkooti eno ku kuweereza obutereevu ku mpewo byonna ebigenda mu maaso ku musango guno. Ono alumiriza nti bakandaaliririzza omusango guno kagenderere nga bwe balinda kkooti enkulu okukkiriza bannamawulire okuweereza butereevu ebigenda mu maaso ku musango guno basobole okukola katemba. Wabula Omulamuzi Adams Byarugaba abadde mu mitambo gy’omusango guno asazeewo okugwongezaayo kutuusa nga 25 omwezi ogujja oludda oluwawaabirwa lusobole okufuna obudde obumala okwewozaako Okuwulira omusango guno kuyindira ku kkooti ya Mwanga 2 e Mengo