Omusawo w’ekinnansi akwatiddwa lwa kutta mukazi we
Waliwo emirambo egisangiddwa nga gyaziikibwa ku kyalo Kamughobe mu ggombolola ye Kisinga mu disituylikiti y’e Kasese.
Kiteeberezebwa nti bano baandiba nga battibwa omusawo w'ekisansi ku kyalo kino kubanga mukyalawe ne muganda we bamaze ebbanga nga baabuze ku kyalo. Poliisi etegeezezza nga bwegenda okukola okunoonyereza okuzuula oba nga ddala be bbo.