Poliisi ekutte 8 ku by’ekuusa ku bijambiya e Kassanda ne Mityana
Poliisi mu bitundu bye Wamala eriko abantu munaana beekutte ku byekuusa ku ttemu eryali e Buswabulongo mu munisipaali ye Mityana Omunaana bano balowoozebwa okuba nga be baali emabega w'obulumbaganyi obwakolwa ku Musuubuzi Henry Male Munyagwa ne bamubbako amasimu agabalirirwamu obukadde 14. Abakwata baasangiddwa n'essiu ya Munyagwa, Pikipiki bbiri amajambiya, ebyambalo bya poliisi n'ebirala bingi.