Poliisi etandise okunoonyereza okuzuula amazima ku mwana agambibwa okuttibwa nnyina
Poliisi etandise okunonyerezaku nfa y’omwana Nanwa Rugari ow’emyaka ebiri n’ekitundu , eyafiiridde mu maka ga bazadde be e Mutungo mu ngeri eriko akabuuza. Okusooka kyabadde kigambibwa nti omwana ono yawanuse mu ddirisa lye nnyumba ya bazadde be eya kalina naagwa, kyokka okwekebejja omulambo ne kizuuka nga tegwabaddeko kiwundu kyonna.Kitegerekese nga taata womwana ono Chris Rugari, ne nnyina Jolin Kenoheri bwe babade n’obutakaanya okuva mu 2023 , ekyongedde ebibuuzo ku nfa y’omwana ono.