Prof. George Kanyeihamba, Museveni amutenderezza olw’omukululo gw’alese
Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda Stephen Samuel Kaziimba Mugalu, asabye bannayuganda okwettanira emirembe ng’eggwanga lyolekera akalulu ka bonna aka 2026.Kazimba asinzidde mu kusabira eyali omulamuzi wa kkooti ensukkulumu Prof. George Kanyeihamba eyafa wiiki bbiri eziyise, okuyindidde ku lutikko ya Al Saints e Nakasero. Kaziimba agamba nti buli munnayuganda asaanye okukkirizibwa okuwagira ekibiina kyayagala awatali kutya kwonna.