Pulezidenti Museveni asabidde Kabagenyi akalulu
Pulezidenti Museveni afalaasidde banna NRM mu bitundu by’e Kisoro okukomya ebikolwa eby'obusosoze mu ddiini kubanga ky'ekimu ku biremesezza okuleetawo enkulaakulana ey'omuggundu mu kitundu kyabwe. Museveni agamba nti bano basaanidde okulonda abakulembeze awatali bukwakkulizo bwa ddiini oba mawanga wabula okulonda obusobozi. Bino abyogeredde mu kukomekkereza okuwenjeza munna NRM Rose Kabagyenyi, akalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Kisoro.