Rajiv Ruparelia afiiridde mu kabenje, mmotoka yamulemeredde n’egwa n’ekwata omuliro
Rajiv Rupaleria mutabani w’omusuubuzi Sudhir Ruparelia afiiride mu kabenje ka mmotoka akagudde ku luguudo lwa Entebe Express way mu kiro ekikeeseza olwaleero. Ono emmotoka mwabade atambulira ekika kya Nisan GTR emulemeredde bwetyo n’etomera ebiseminti ebiri ku nkulungo y’e Busaabala neyerindigula ekigwo era neekwatirawo omuliro n’ebengeya. Rajiv okufa yabade abadde ava Kajjansi ngadda Munyonyo.