Robert Kyagulanyi azizzaayo empapula z’okuvuganya mu 2026
Kikakasiddwa nti Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu yeeyekka azizzaayo empapula eri akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina nga yeegwanyiza okukikwatira bendera ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga mu kalulu ka 2026. Kyagulanyi ategeezezza nti wadde ebisoomoza byali bingi mu kalulu akaaggwa, mumativu nti singa ekibiina kimwesiga ku luno, waakukireetera obuwanguzi bwe baludde nga balindirira.