Simon Byabakama agamba akavuyo kandiddamu mu Kawempe
Akakiiko k'ebyokulonda kavumiridde ebikolwa by'ebitongole by'ebyokwerinda eby'okweyambisa eryanyi ku bantu abavuganya mu kalulu ka Kawempe North beppo ne bannamawulire ababa bakwata ebigenda mu maaso.Ssentebe w'akakiiko kano omulamuzi Simon Byabakama atubuulidde nti nga akakiiko baasisinkanye abakulu okuva mu byokwerinda omuli poliisi, amagye n'akabinja akakettera munda mu ggwanga era nebabalabula okukomya bye bakola kubanga biyinza okusuula demokulasiya wa Uganda mu kattu.