Ssaabaminisita Nabbanja agguddewo essomero ly’abasawo n’akatale e Moyo
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja agudewo ettendekero ly’abasawo mu disitulikiti ye Moyo, li Moyo School of Nursing and Midwifery lyazimbidwa minisita w'eby'enjigiriza ebisokerwako Dr Moriku Kaducu. Nabbanja aligudewo bwabadde ku matikira getendekero lino agomulundi ogwokubiri kwebatikidde abasawo 421 kumutendera gwa Certificate ne Diploma.