Ssaabasumba Ssemogerere asiimye abakyala abakatolika olw’okubeera abakozi
Ssaabasumba w’essaza ekkulu ey’e Kampala Paul Ssemogerere atendereza abakyala okuba abayiiya nga bạngi kati benyigira mu mirimu gy’enjawulo ky’agambye nti kyongedeko ku nkulakulana y’amaka. Ono asinzide ku lunaku lw’abakyala abakatoliki mu Ssaza ly’e Kampala nga luno lwetabiddwako n’omumyuka w’omukulembeze w’ggwanga Jessica Alupo.