Uganda Heart Institute efunye ekyuuma ekipya
Uganda efunye ekyuuma ekirala ekigenda okuyambako mu kujjanjaba endwadde z'emitima n'emisuwa oluvannyuma lw'ekibaddewo okutandika okukaddiwa. Okusinziira ku bakulu ku Uganda Heart Institute, ekyuma ekireteeddwa kyakukendeeza ku muwendo gw'abalwadde abaddukira ebweru w'eggwanga okujjanjjabibwa kubanga kituukanira ddala n'omutindo gw'esni yonna.Ekyuma kiwemmense obuwuumbi 7 mu obukadde 600 mu 80 eza Uganda.