Waliwo abasomesa e Makerere aboolekedde okugobwa lwa kuguza bayizi bubonero
Waliwo abasomesa ku ssetendekero Makerere essaawa eno abali mu kuwerennemba n'emisango egyekuusa ku kutunda obubonero eri abayizi. Bano essaawa zino bagasimbaganye n'akakiiko akasunsula abakozi ku University ka Appointments board era singa gubakka muvvi, basuubirwa okugobwa. Bino byogeddwa amyuka Akulira university eno Prof Barnabas Nawangwe mu lukungaana ne bamawulire olutegekeddwa ku ssetendekero