Waliwo abeekubidde enduulu ku baabwe abali mu nkomyo e Masaka, bamaze emyaka 7 tebawozesebwa
Waliwo abooluganda babiri abagenda okuweza emyaka 7 nga bali mu kkomera e Masaka nga tebawozesebwanga ekitabudde abooluganda n’emikwano nga beebuuza eky’okukola tebakiraba.Bano balumiriza nti waliwo akagenderere ak’okubaggya ku lukalala lw’abalina okuwozesebwa buli kiseera ekibaleetedde okukandaalirira mu kkomera.Kyokka bagaanye enteekateeka y’okubaperereza bamele gakkiriza nti bazza omusango basalirwe awatali kuwoza.