Wuuno Ruth Yatuwa Amooti abadde akuba mataffaali okweweerera
Mu District y’e Luwero eriyo omuyizi ow’obuwala Ruth Yatuwa Amooti abadde akuba amataffaali okweewerera nga y'omu ku bakoze obulungi mu bigezo bya senior ey’okuna eby’omwaka oguwedde. Ono atubuulidde nti wadde ayitidde waggulu, eziva mu mataffaali tezijja kumusobozesa kweyongerayo asobole okutuukiriza ekirooto kye eky'okuba omusawo.Okujjaganya kubadde kwa kimpowooze mu masomero kumpi gonna olw’ensengeka empya ey’eyavudde mu bigezo bino. Herbert Kamoga y’ali e Luweero.