Yiino SACCO ekyusizza obulamu bw'abantu b'e Kakiri
Waliwo SACCO eyatandika nga ey'okusaaga mu bitundu bye Kakiri eyo ekyusizza obulamu bw’abantu mu kitundu nebirala ebiriraanyewo NADDANGIRA AGALI AWAMU SACCO yatandikira ku eklezia ya St Mbaaga Kakiri mu mwaka gwa 1990 nga okufuna omugabo mu SACCO eno omuntu asasula nnusu lukumi. SACCO eno wetwogerera ng'eweza obuwumbi mwenda era nga mu kiseera kino yatandika n’amatabi mu bitundu ebirala okusobola okuyamba ku bantu okweggya mu bwavu naddala abalimi.