Bakansala batabukidde abatwala Makindye ssabagabo lwabuwumbi 45
Bakansala abatuula ku lukiiko lw’a Makindye Ssaabagabo bavude mu mbeera nebatabukira abadukanya munisipaali eno saako n’olukiiki olw’ekikugu nga baagala kumanya sente obuwumbi 45 ezabaweebwa bbanka y’ensi yonna kyazaakola.
Akulira abakozi ku munisipaali eno agamba ensimba zaakozesebwa nga n’eddala zikyaliwo wabula nga bakansala bebuuza lwaki emirimu gyikolebwa mu kitundu kyabwe nga tebategeezeddwa.
Town Clerk era anenyeza bakansala bano obutaagala kusoma kuba babawa obutabo obulambika nsaasanya n’ebikoleddwa naye bbo tebaagala kubisoma.