OKUKENDEEZA ENKAYANA KU TTAKA : E Mubende gavumenti eganye ebyapa 320
Mu kawefube w’okulwanyisa ekibba ttaka, gavumenti egabidde abatuuze be Mubende mu gombolola ye Kigando ebyapa 320 nga kubano 201 bakyala. Minisita we byettaka Judith Nabakooba agambye nti kino kikoleddwa kuyamba batuuze abatalina busobozi kwefunira byapa byabwe, kyoka nga bazze batawaana ne nkayana ku ttaka. Abatuuze abafunye ebyapa basiimye gavumenti olwokubaduukirira.