OKULWANYISA ENVUBA EMBI KU NYANJA ALBERT : Abavubi baagala bagattibwe ku bagikuuma
Abavubi ku nyanja Albert baagala bagattibwe ku kibinja ekikuuma enyanja ekya gavumenti bawone okutulugunyizibwa. Bagamba abatwala eby’envuba okuva e Congo babaliisia akakanja omuli okuwamba ebintu byabwe. Okwogera bino babade basisinkanye okusala entotto ku bibaluma.