2 Bakwatiddwa e Gganda- Nansana lw'akutyoboola eddembe ly'abafu
Abatuuze b’e Gganda mu gombolola ya Wakiso mumyuka mu disitulikiti y’e Wakiso bakeeredde mu ntiisa, okusanga abantu nga bali mukusimula amalaalo.
Poliisi etubuulidde nga bekutte ababadde basimula amalaalo gano nga kigambibwa nti byavudde ku nkaayana eziri ku ttaka lino.