Abafiira mu kabenje k'e Kyenjojo, 4 babadde ba nyumba emu
Abamu ku bafiira mu kabenje akagudde mu disitulikiti y’e Kyenjojo, baziikiddwa -abakungubazi nebawanjagira ab’obuyinza, okuvaayo n’omukono ogw’ekyuma, eri abavuzi ba zi Bus bebagamba nti beefudde mmo mukuvugisa ekimama.
Akabenje kano kavudde ku motoka ya Bus ya Poko poko, okugasimbagana n’emotoka kika kya Toyota Hiace abantu abawerera ddala 11, nebalugulamu obulamu.
Abakungubazi boongedde okukikaatiriza nga amateeka g’okunguudo bwegasaanye okunywezebwa.