Abalunzi b’ebisolo naddala ente bandifuna ku kaseko ku matama
Abalunzi b’ebisolo naddala ente bandifuna ku kaseko ku matama oluvanyuma lw’okufuna lwa NARO okukola eddagala ligema enkwa. Abalunzi baludde nga beemulugunya ku nkwa ezibamazeeko emirembe nga n’eddagala eritundibwa kyupule. Oluvanyuma lw’okugezesebwa, kikakasiddwa nga lino bweligenda okutongozebwa n’okwanjulibwa eri abalunzi mu bbanga ttono dala.