Abatuuze be Jjanya basula ku tebuukye olw'okubagobaganya ku ttaka
Wabalusewo okutya mu batuuze ku kyalo Janya mu Town Council y’e Mpigi, oluvanyuma lw’okutandika okugobaganyizibwa ku ttaka. Ettaka ery’ogerwako liriko obugazi bwa yiika 24 nga waliwo n’emmere y’abantu abamu eyasaayiddwa - ssentebe w’ekyalo kino agamba enkaayana ku ttaka lino zirudde nga waliwo abantu babiri buli omu alumiriza nti lirye. Abakaayanira ettaka lino buli omu yegaanye eky’okugobaganya abatuuze.