Abavubi ba mukene ku mwalo gw’e Bukungu basaba kuddamu okuvuba mukene
Abavubi ba mukene ku mwalo gw’e Bukungu mu disitulikiti y’e Buyende balaajanidde gavumenti ebakkirize okuddamu okuvuba mukene. Bino bibadde mu nsisinkano gyebabaddemu ne RDC mu kaweefube w’okulwanyisa envuba emenya amateeka. Bano bagamba okuva okuvuba mukene lwekwawerebwa embeera yakyuka nga kati n’eky’okulya tebakyakirina.