Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi kakutte omukozi wa NEMA e Gomba
Akakiiko akateekebwawo omukulembeze w’eggwanga akalwanyisa obuli bw’enguzi kakutte omukozi w’ekitongole ky’ebibira mu ggwanga ki National Forest Authority e Gomba John Kibuuka ku bigambibwa nti abadde asusse okuliisa abantu akakanja. Abatuuze bagamba nti ono abadde alagira abajaasi nebabakuba abantu emiggo kwossa n’okuwamba ettaka lyabwe. Kati ono akwatiddwa abeereko byanyonnyola.