Bakansala b’e Busukuma beerayiride obutakkiriza kasasiro kuyiibwa mu kitundu kyabwe
Bakansala ku lukiiko lw’eggombolola y’e Busukuma beerayiride nga bwebatagenda kukkiriza kasasiro kuyiibwa mu kitundu kyabwe okujako ng’ebyakiriziganyizibwako bimaze okutuukirizibwa.
Ku bino kuliko okubakolera amakubo, okusuumusa eddwaliro mu kitundu kino kwosa n’ebirala.
Kino kdiride ba kansala ku lukiiko lwa munisipaali y’e Nansana ne Kira okuyisa ekiteeso ekikiriza KCCA okutandika okuyiwa kasasiro e Menvu ku ttaka eryagulwa munisipaali zino.