Bannadiini balabudde abazadde e Mityana obutawubisibwa ku nsonga y’okuweerera abaana
Bannadiini balabudde bannamityana ku kiseera ky’eby’obufuzi ekisembede obutawubisibwa naddala ku nsonga y’okuweerera abaana baabwe. Bano bagamba omuzadde yenna alina okuwa omwana we eky’okulya ku somero bwekuba kusasula ssente bazisasule bave mu by’ogerwa nti mu ssomero lya gav’t olina kusindika busindisi mwana gwe neweetulira. Era abazadde bakubiriziddwa obutasuulirira buvunaanyizibwa bwabwe. Okwogera bino babadde ku mukolo gw’okusenderako ssente z’okuzimba enyuma z’abasomesa ku somero lya St Luke Nakibanga pulayimale e Mityana.