Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala avumiridde ekivvulu kya Nyege Nyege
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogere akubirizza bannayuganda okwewala okwenyigira mu bikolwa by’obuseegu by’agamba nti byongedde okusensera eggwanga nga kino akyekuusizza ku kivvulu kya nyegenyege. Ono era akubirizza bannayuganda obutaggwamu maanyi ku ky’okulima ammwanyi bwebaba banaagoba obwavu - ebigenda mu maaso mu palamenti ono abasabye babirabe kyamuli. Ssaabasumba okwogerau bino asinzidde ku kiggwa ky’abajulizi e Munyonyo mu kujaguza bwegiweze emyaka 60 bukyanga abajjulizi ba Uganda balangirirwa mu lubu lwabesiimi.