Aba Mpigi Health Center beekubidde enduulu ku ttaka ly'eddwaliro
Ettaka ly’eddwaliro lya Mpigi Health Center IV singa teryanguyirwa lyanditwalibwa lyonna olw’abantu abasusse okulyesenzaako. Abasawo ku ddwaliro lino bagamba nti bano tebakomye ku kyakutwala ttaka lyokka wabula n’emmere gyebalima nayo bagyisaawa. Bawanjagidde akakiiko akalondoola eby’obulamu ku disitulikiti, okuyinigira mu nsonga zino okutaasa eddwaliro lino.