NIRA egamba bangi bagatiddwa mu masinzizo obufumbo bwabwe tebuli mu mateeka
Ekitongole ki National Identification and Registration Authority [NIRA], kigamba abafumbo bangi abagatidwa mu masinzizo naye nga obufumbo bwabwe tebuli mu mateeka. Bagamba singa wabeerawo okusoowagana kwonna mu baagalana bano kiba kizibu okuyambibwa kuba buba tebumanyiddwa - okwogera bino babadde bagatta emigogo gy’abafumbo 12 ku kisaawa e Kololo okwewangulira obufumbo.