Eb'eby'obulamu battukizza kaweefube wokwagazisa abavubuka obupiira
Minisitule y’eby’obulamu ng’eri wamu n’ebitongole by’obwanakyeewa ebikola mukulwanyisa ekirwadde kya mukenenya bakuttukiza kawefube w’okusomesa abantu okwetanira okukozesa obupiira bu kalimpitawa. Okusinziira ku minisitule y’eby’obulamu, abantu abasinga bakyalina endowooza enkyamu ku bupiira nga n’abasinga balumiriza nti ezikolebwa ensanji zino bwezitabatuuka ekiviirideko abamu okuzesonyiwa.