Ebbula ly'amazzi: Amasomero n'amalwaliro gasobeddwa
Akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku by’obuyonjo ka Uganda Parliamentary Forum on Water, Sanitation and Hygiene olwaleero bakyaliddeko gamu ku masomelo n’amalwaliro ga gavumenti e Mbarara okulaba embeera mwegali. Eno gyebazuulidde nti mu bifo bino teri mazzi, nga bwegutuuka mu budde obw’akakasana, bagabana ga bidiba n’ente, okuddukanya emirimu gyabwe.