Abafumbo b'essaza lye Masaka baweereddwa amagezi
Bwana Mukulu w’e kigo Kya Villa Maria Parish mu disitulikit ye Kalungu Rev. Fr. Michael Ssewakiryanga yennyamidde olw'obutabanguko obufumbekedde mu bafumbo nga kino akitadde ku basajja kusuulirira buvunaanyizibwa bwabwe. Fr. Ssewakiryanga asinzidde mu kitambiro kya misa gyayimbye e Kitovu mu Kibuga Masaka bwabadde akulembeddemu abaagalana mu kukuza olunaku lwa bagalana.