Obumenyi bw'amateeka: E Butambala RDC alabudde abavubuka
Omubaka wa pulezidenti e Butambala Hajji Ahumed Kateregga Musaazi aweze okufafaagana n’abamenyi b’amateeka beesomye okutabangula ekitundu kino. Hajji. Kateregga agamba nti obubbi obusitudde enkundi mu Butambala. Bino abyogedde ku kitebe kya Disitulikiti y’e Butambala bwabadde atongoza entekateeka egendereddwamu okubangula abavubuka nga bayita mu kubasomesa emirimu egy'eby’emikono.