Abatuuze ku kyalo Namaseenene baguddemu ensisi
Abatuuze ku kyalo Namaseenene mu ggombolola y’e Kalangaalo mu disitulikiti y’e Mityana baguddemu ensisi oluvanyuma lw’abatemu okuzinda ekyalo kyabwe ne batemaatema abantu 4 okukkakkana ng’omu tasobodde kusimattuka. Bino bituseewo mu kiro ekikeesezza olwaleero abatemu abaabade n’ebijambiya bwe bazinzeeko ekyalo.