E Mityana omupakasi asse mukama we
Ensisi ebuutikidde abatuuze b’e Mpanga mu divison y’e Ttamy e Mityana bwebagudde ku mulambo gwa munaabwe nga guziikiddwa.Kigambibwa nti ono yattibwa omukozi we n’adduka n’ente ze.Omulambo guziikuddwa negutwalibwa mu gwanika e Mityana poliisi nga yabakanye dda n’omuyiggo gw’omukozi.