E Mpigi waliwo abaziise ebisigalira by'abafu e kiro
Abatuuze ku kyalo Bumoozi ekisangibwa mu Mpigi town Council mu disitulikiti ye Mpigi bali mu kusoberwa olwabantu nakati abatanamanyika abaziiise ebisigalira by’abafu ebisukka mu 20 ku kyalo kino.
Kitegerekese nga abaakoze kino bazze kiro, kyoka nga nakati tekinnamanyika baakikoze , wadde ebibakwatako.
Omuyambi w’omubaka wa pulezidenti e Mpigi Francis Kabuye atubuulidde nti batandise okunnyereza ku baakoze ekikolwa kino.