E Mukono, owa Boda asangiddwa nga atiddwa
Abatuuze ku kyalo Nsambwe e Mukono baguddemu ekyekango okusanga omulambo gw’amunaabwe nga gugang’alamye mu kitaba ky’omusaayi ku luguudo oludda ku Ssatu. Ono abadde muvuzi wa boda boda naye abaamuse pikipiki tebaagyitutte. Abatuuze obuzibu babutadde ku byakwerinda ebitono mu kitundu kyabwe kuba ekifo kino kafuuse kattiro.