KCCA enyonyodde lwaki kasasiro mu Kampala akyetuumye
Buli wooyita mu Kampala kizibu obutasangawo ntuumu ya kasasiro, kyongedde okwenyamiza abawangaalira mu kibuga nti bandirumbibwa endwadde.
Abamu ku batuuze bagamba bakyabasasuza ssente za kasasiro kyoka nga bamutwala.
Bwetutuukiridde KCCA egamba mukiseera kino Kasasiro atwalibwa Katikolo e Mukono nga bwebakyanoonya ekifo eky’enkalakkalira.
Yyo e Ddundu era e Mukono KCCA egamba yakuteekayo ekyuma ekirongoosa Kasasiro.