Mpuuga asambira nyuma: Kkoti egamba ensimbi zebeegabira tezimenya mateeka
Omubaka omulonde owa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga, asekeredde bonna ababadde bamuyiisamu amaaso n’okumuvvoola nga bweyeegabira ssente obukade 500 ne banne abalala eziwerera ddala akawumbi kamu n’obukadde 700 ez’omuwi w’omusolo.Kino kiddiridde kkooti enkulu okuwa ensala yaayo nga ba kamisona bonna bwebaafuna ssente zino mu butuufu.Kati Mpuuga agamba keekadde okuddamu okukakkalabya emirimu gye obulungi kuba ebbanga lyonna ebizibu byabaddemu bibadde tebimusobozesa kuweereza bannayuganda bulungi.Wabula kkooti yeemu egamba Clerk wa Palamenti alina okunyonyola ku ngeri gyatuuka okuwamu ba kaminsona bano sente zino.