Mu Yiga Okuyiiya olwaleero tukuleetedde Dorothy Nankabirwa eyeenyumiriza mu kuvuga pikipiki
Mu Yiga Okuyiiya olwaleero tukuleetedde Dorothy Nankabirwa eyalekawo ogw’obusawo ebw’ebisolo by’eyasomerera n’atandika okuvuga pikpiki nga mu kiseera kino y’omu ku batusaako bakasitoba ebintu wona webali.
Nankabirwa nga akula yalabanga senge we nga avuga pikpiki kale naye neyeesubiza nti luliba olwo.
Ono tumusanze Kasenge mu Wakiso gyava buli lunaku okukola egimusasuza.