OBULAMU :Omusawo anyonnyola ku kuwunya akamwa
Okuwunya akamwa, kizibu ekiri mu bantu bangi olw’ensonga ez’enjawulo - bangi kino bakyekuusa ku bukyafu oba obutasenya, naye omusawo agamba waliwo embeera endala esobola okuleetera omuntu okuwunya akamwa. Mu bulamu olwaleero, twogeddeko n’omukugu mu ndwadde z’akamwa okumanya ekizibu kino n’enzijjanjaba yaako.