OKUBBULULA ABKYALA MU BY'OBUKULEMBEZE: Banakyewa bategese okutendeka abakyenyooma
Bannakyewa abalwanirira okuyitimuka kw’abakyala bategese okutandika okutendeka banaabwe , ku butya bwe bayinza okwegazaanyiza mu bifo by’obukulembeze ku mitendera egy’enjawulo. Bagamba nti abakyala bangi bakyasanga emiziziko mu lugendo lw’okuvuganya n’abaami mu kisaawe ky’obukulembeze, kale nga bagwana kukwata ku mukono. Bategese okutendeka abakyala bano, naddala nga babawa omukisa okuyigira ku banaabwe abali mu bifo nga bino