Okukangavvula abaana abazza e misango: Mubende ezimbye ekifo we bakuumirwa
Disitulikiti ye Mubende etongozza kawefube w’okuzimba ekifo awagenda okukuumirwa abaana abazza e misango,kko n’abalondebwa nga babungeetera ku makubo.
Abakula ku disitulikit ye Mubende bagamba nti buli mwaka bafuna abaana abasoba mu 100 abataliiko mwasirizi, kko n’abazizza emisango kyoka nga tebalina we babakuumira.
Ekifo kino kitunuuliddwa ng’ekigenda okubayamba okukomya enkola y’okusibira abaana mu kkomera erimu n’abantu abakulu.