Okulwanyisa enkyaana ku ttaka : Gav't etegese olukungaana lw'amawanga 40
Minisita w’eby’ettaka Judith Nabakooba ategeezezza nga gavumenti bwetagenda kussa mukono mu kulwanyisa obubbi bw’ettaka naddala eri abantu ba wansi. Nabakooba agambye webutuukidde olwaleero nga bakagaba ebyapa 82,000 eri bannayuganda mu bitundu eby’enjawulo. Kati gav’t etegese olukung’aana okukubaganya ebirowoozo n’okufuna alipoota ku nkwata y’ettaka okuva ku mawaga amakumi 40 okuva ku ssemazinga wa Africa.