OKWEKALAKAASA E KENYA : Bannayuganda abazubuuzi n'abatambuze balabuddwa
Ekibiina ekitaba abasuubuzi ki KACITA-U kirabudde gav’t obutabuusa maaso butabanguko buli mu ggwanga li Kenya kubanga byekuusa ku misolo. Mu kiseera kino bano batandise okusala entotto okukozesa amakubo amalala okuyingiza eby’amaguzi mu ggwanga . Bbo abasaabaze abagenda e Kenya basabiddwa okugira nga bakwatiriramu embeera esooke ekakkane.