Okwetegekera okubala abantu mu ggwanga: Gav't eyagala Buganda egiyambeko mu kukunga abantu
Katikkiro wa Buganda Charlse Mayiga, asabye bannayuganda obuteekengera nkola ya kubala bantu kuno okusemberedde nga beekwasa nti katego ka kubasoloozamu musolo. Okwogera bino abadde mu nsisinkano n’abekitongole ekyemiwendo ki Uganda Bureau of Statistics ababadde bakiise embuga okusaba abakulembeze mu bwakabaka bwa Buganda okubayambako mu kubunyisa enjiri eno.