Omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi alondeddwa okumyuka Pulezidenti wa NUP mu Buganda
Ekibiina ki National Unity Platform kironze omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi, okudda mu bigere by’omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga eyagobwa gyebuvuddeko ku kifo ky’okumyuka omukulembeze wakyo mu Buganda. Mpuuga okujjibwa ku kifo kino bannakibiina bategeeza nga bweyali yenyigira mu bikolwa by’okulya enguzi bwebeegabira ensimbi z’omuwi w’omusolo eziri eyo mu kawumbi kalamba mu obukadde lusanvu. Muwanga Kivumbi ategeezezza nga bwagenda okuyambako omukulembeze we okukyusa obukulembeze bw’eggwanga. Kyokka Kyagulanyi amusabye okwongera okugatta NUP ku Buganda, olw’enkolagala ebadde yasereba.